The Traditional And Complementary Medicene Bill 2015’’





Abasawo b'ekinnaansi abegatira mu kibiina kya Uganda N’eddagala lyayo balaze ekiwandiiko kyabwe Kyebaabaze okusaba pulezidenti Museveni obutasssa mukono ku bbago lya ‘The Traditional And Complementary Medicene Bill 2015’’ ne ‘petition’ gyebategese okutwala mu paliyamenti okuddamu okwekenenya bo lyebagamba nti tebakiriziganya nalyo era lyagendereramu kutatana linnya lyabwe bo nga abasawo b’ekinansi.
Karim Walyabira Ssalongo ssaabasamize  akulira ekibiina  kya a’basawo b’ekinansi ki Uganda N’eddagala Lyayo yategeezeza nti eteeka lino lyagendereramu kubasaako musolo naye bo nga abasawo bekinansi teririna welibayambira nga n’abaliyisa tekwaliko alina bumanyirivu kunsonsa za kinansi era wano weyagambidde abo abakiriziganya nalyo baffere sibasawo bakinansi.
Walyabira yategeezeza nti betaaga minisitule eyetengeredde ey’ebyobuwangwa bagibwe muminisitule yekikula ky’abantu nga bwekiri munsi endala.
Walyabira yayebaziza paliyamenti olwokuyisa eteeka eri abo abasadaaka abantu n’ategeeza nti mulubaale n’amayembe gaawano tewali lilya muntu era abo abakikola sibasamize batuufu n’asaba pulezidenti museveni ayanguye okulisaak omukono n’asaba abasawo bekinansi okugenda okwewandiisa ku zi disitukiti kuba okwewandiisa kwabweerere.
Jajja kayizi omwogezi wekibiina era nga akolanga omwogezi wakakiiko akalwanyisa ekitta bantu yategeezeza nti betaaga ebyekinansi bive mu minisitule yekikula ky’abantu okusobola okugyayo n’okutumbula eby’obuwangwa.
Kayizi yategeezeza nti nabo betaaga abakiise nga babiri mu seteserezo  we ggwanga era n’asaba eteeka lya 2015 likomezebweewo mu paliyamenti lyekeenezebwe kuba temuli kalungi eri bo era n’asaba ebiwandiiko byabwe bikakasibwe okusobola okuwona abo bona ababalwanyisa.

By: SSUUNA PETER

Comments

  1. Nze njagala ennamba yomusawo akola atali wa bulimba plzzz

    ReplyDelete

Post a Comment

Popular posts from this blog

Ngonge (otter) clan

ENTE / COW CLAN

nkima clan / monkey clan