NGA TUJJUKIRA olunaku lw'abaana mu Africa olubeerawo nga 16 June
NGA TUJJUKIRA olunaku lw'abaana mu Africa olubeerawo nga 16 June buli mwaka, abazadde mufeeyo nnyo okugunjula abaana ku musingi ogw'edda okuviira ddala ku kyalo tusobole okufuna abaana abanaayamba eggwanga. Bino Mondo Kyateka amyuka comissioner w'ensonga z'abaana n'abavubuka yabyogeredde ku Silver Springs Hotel e Bugoloobi mu lukungaana lw'abaana mwebayitira okutuusa amaloboozi gaabwe eri Gavumenti ku nsonga y'okutulugunya abaana. Abaana bangi baatuusizza ensonga zaabwe omwabadde okutulugunyizibwa, okusosola abaana abalina obulemu ku mibiri, abaana abanoonyi b'obubudamu. Mondo Kyateka yategeezezza bajjukira olunaku luno okusinziira ku kyaliwo mu south Africa abaana abazira bwe beekalakaasa mu soweto nga balwanirira eddembe lyabwe. Era olukiiko lwa Africa olwa OAU mu 1991 ne luteekawo olunaku luno lukuzibwe nga 16 June buli mwaka. Mondo yategeezezza nti nga Gavumenti, baateekawo essimu 116 etali yakusasulirwa abaana n'abantu sekinnoomu kwebanaayit...