KKOOTI YA KISEKWA ESAZIZZAAMU OBWA KATIKKIRO BW’ENSENENE OBUBADDE BUMAZE EMYAKA EGISUKKA MU 120 MU BW’ENSOWOLE.
Bazzukulu ba Ipolito nga bajaguza Kkooti ya Kisekwa e Mengo esazizzaamu obwa “Kajubi” katikkiro w’ekika ky’Ensenene obubadde bumaze emyaka egisukka mu 120 mu bw’ensowole n’eragira balonde omuggya nga balambikibwa ennono ya Buganda era ayanjulwe obutasukka nnaku 30. Bino byasaliddwawo olukiiko lw’abalumuzi ku kkooti eno abaakulembeddwa kisekwa, Dr. Robert Ssonko Kanakuloopa, Lubega Ssebende n’abalala oluvunnyuma lw’omusango KD/01/2023 okutuuka ku nkomerero yaagwo. Bazzukulu ba Ipolito Lule Gyolyabalamu ab'e Nsenene abawangudde omusango, baawawaabira bazzukulu ba Marko Kironde okulya ensowole ku bwa Katikkiro bw'ekika era bazze bazuzumba okuva 1920. ku kkono ye Ian Kabali Katikkiro gwe baggyeko ne Dr. Frank Ssebbowa mu ntuula za kkooti eziyise Bano nga bakulembeddwamu Charles Sserebe ne Mulindwa Magatto beemulugunya nti Ian Kabali Katikkiro aliko kati si y’ateekeddwa kubanga tava mu lunyiriri lwa Ipolito oluvaamu Kajubi. Bisoba bitya? Okusinziira ku Sserebe omuwaabi agamba nti...