Posts

Showing posts from June 3, 2021

EMIRIMU GY'EMIKONO

Image
  EKITONGOLE  kya Uganda Youth Development Link (UYDEL)kibangudde abtuuze be Nakulabye mu by’emikono.  Bano  babadde Nakulabye mu zooni v ekisangibwa mu munisipaali ye Lubaga  ku Lwokusatu, nebategeeza nti  bavubuka bangi  mu Nakulabye abatalina mirimu nga  balabye  nga wakyaliwo obwetavu bwokubabangula   mu mirimu gy’omutwe basobole okwebeezaawo. Abavubuka  abawera  50 bebetabye ku musomo guno  ogwabadde kuteekateekeddwa  okumala olunaku lulamba, nga  batandise  ku saawa emu nebakomekerezza  akawungeezi.  Bano  bayigiriziddwa   okukola  paadi z’abakyala ezebakozesa  nga booza, okukola Yogaati,ssabuni w’amazzi,  nebilala. Daisy Namboga  ng’ono  akulira eby’emirimu mu kitongole kino yategeezezza nti ekigendererwa  ky’emisomo gino kwekuyambako  okubangula abavubuka  okusobola okuyiga emirimu egisobola okubabeezawo mu bulamu. Yagambye nti...