Posts

Showing posts from May 5, 2021

Bulungi bwansi e lubaga

Image
 Bya: PETER SSUUNA ABATUUZE ba Mbuubi Zooni Lungujja Parish mu Division y’e Lubaga baakeeredde mu Bulungi Bwansi ku lwokusatu nga bano baakulembeddwamu Patrick Lukenge Ssentebe w’e kitundu kino. Bano baagoogodde omwala gwa Kamaanya Road ssaako n’okuzibikira ebinnya mu luguudo luno olwabadde mu mumbeera embi. Patrick Lukenge Ssentebe wa Mbuubi Zooni ategeezezza nti enkola eno yatongozebwa Shinji Katongole emyaka 2 egiyise era nga enteekateeka eno ekolebwa buli Lwakusatu era nga obwa Kabaka bwebukuutira. Patrick agamba nti bayambibwako John Hanwick eyabagulira ebikozesebwa mu mulimo guno omuli enkumbi, ebitiiyo,obuwuuba n'ebirala era nga ono wa byakwerinda ku lukiiko lw’ekyalo. Mu ngeri yemu Patrick agamba nti enkola ya Bulungi Bwansi eyambye nnyo okugoogola emyala, okusimba emiti ku makubo, okukubiriza abatuuze okukuuma obuyonjo mu maka, wamu n’okulaga abavubuka omutima gwa mwoyo gwa Ggwanga. “Gavumenti bweba eruddewo okuddaabiriza amakubo, ffe katwekolemu omulimu ng’ abatuuze tulon...