NGA TUJJUKIRA olunaku lw'abaana mu Africa olubeerawo nga 16 June

 NGA TUJJUKIRA olunaku lw'abaana mu Africa olubeerawo nga 16 June buli mwaka, abazadde mufeeyo nnyo okugunjula abaana ku musingi ogw'edda okuviira ddala ku kyalo tusobole okufuna abaana abanaayamba eggwanga.

Bino Mondo Kyateka amyuka comissioner w'ensonga z'abaana n'abavubuka yabyogeredde ku Silver Springs Hotel  e Bugoloobi mu lukungaana lw'abaana mwebayitira okutuusa amaloboozi gaabwe eri Gavumenti ku nsonga y'okutulugunya abaana.
Abaana bangi baatuusizza ensonga zaabwe omwabadde okutulugunyizibwa, okusosola abaana abalina obulemu ku mibiri, abaana abanoonyi b'obubudamu. 
Mondo Kyateka yategeezezza bajjukira olunaku luno okusinziira ku kyaliwo mu south Africa abaana abazira bwe beekalakaasa mu soweto nga balwanirira eddembe lyabwe. Era olukiiko lwa Africa olwa OAU mu 1991 ne luteekawo olunaku luno lukuzibwe nga 16 June buli mwaka.
Mondo yategeezezza nti nga Gavumenti, baateekawo essimu 116 etali yakusasulirwa abaana n'abantu sekinnoomu kwebanaayitira okuloopa okutulugunya abaana.
Yangambye nti teri muntu yenna akkirizibwa kukuba mwana era wano weyasinziidde n'asaba abazadde okuwa abaana ebibonerezo ebisaamusaamu ate era n'abaana okufaayo okukuuma empisa.
Yategeezezza nti bafuddeyo nnyo okuteeka obubaka ku Radio, Telefayina n'emitimbagano gya internet obulungamya wamu n'okusomesa abantu obutenyigira mu kutulugunya baana.
Yasabye ebitongole ebitali bimu okuli abasomesa, abazadde, abakulembeze ab'ennono n'abeddiini ssaako n'ebitongole byo bwannakyewa okuziyiza ebikolwa ebityoboola abaana n'okulungamya eddembe ly'abaana.
 Martin Kiiza Director w'ekitongole kya National Children Authority yategeezezza nti bataddewo enkola ya National Child Policy enayamba okutereeza ensonga z'abaana mu ku kuuma abaana abalina obulemu, ku by'enjigiriza, okubayimusa amaloboozi okusobola okukuba omulanga eri gavumenti.
Yakuutidde abaana n'abazadde okufaayo ennyo ekwerinda ekirwadde kya Covid 19 era n'asaba n'abazadde okukuuma abaana mu kiseera kino eky'omuggalo obutatulugunyizibwa.

 
 

Comments

Popular posts from this blog

Ngonge (otter) clan

ENTE / COW CLAN

nkima clan / monkey clan