Bulungi bwansi e lubaga

 Bya: PETER SSUUNA

ABATUUZE ba Mbuubi Zooni Lungujja Parish mu Division y’e Lubaga baakeeredde mu Bulungi Bwansi ku lwokusatu nga bano baakulembeddwamu Patrick Lukenge Ssentebe w’e kitundu kino.

Bano baagoogodde omwala gwa Kamaanya Road ssaako n’okuzibikira ebinnya mu luguudo luno olwabadde mu mumbeera embi.

Patrick Lukenge Ssentebe wa Mbuubi Zooni ategeezezza nti enkola eno yatongozebwa Shinji Katongole emyaka 2 egiyise era nga enteekateeka eno ekolebwa buli Lwakusatu era nga obwa Kabaka bwebukuutira. Patrick agamba nti bayambibwako John Hanwick eyabagulira ebikozesebwa mu mulimo guno omuli enkumbi, ebitiiyo,obuwuuba n'ebirala era nga ono wa byakwerinda ku lukiiko lw’ekyalo.

Mu ngeri yemu Patrick agamba nti enkola ya Bulungi Bwansi eyambye nnyo okugoogola emyala, okusimba emiti ku makubo, okukubiriza abatuuze okukuuma obuyonjo mu maka, wamu n’okulaga abavubuka omutima gwa mwoyo gwa Ggwanga.

“Gavumenti bweba eruddewo okuddaabiriza amakubo, ffe katwekolemu omulimu ng’ abatuuze tulongoose”, ekkubo lino libadde lifuuse lyabulabe mu kitundu era nga ebidduka bingi bigwa ate nga ebimu biremererwa okuyitamu, bw’atyo Patrick Lukenge Ssentebe wa mbuubi zooni bweyagambye.

ABATUUZE KYEBAGAMBA

NALONGO Tibyasa Matovu; Tulina Ssentebe ayagala enkulakulana era enkola eno eya Bulungi bwansi nnungi nnyo eyamba abantu okwekubiriza okukolera awamu. Era Ssentebe tumwebaza ffe nga abakadde okubeera nga atulambulako obutatusuulirira.

SEAN Anderson:” Engeri yokka gyetusobola okukulakulana nga Africa, kukolera wamu” era enkola ya Bulungi bwansi nungi nnyo.

JOSEPH Nyanzi; Enkola eno yaliwo okuva edda nga ba Jjajaffe gyebaakozesanga okukola emirimu gy’ekyalo. Obukiiko bwaffe bwakiteeka mu nkola nga gavumenti tennafaayo netuzzaawo enkola eyedda. Mu kifo ky’abantu okwekalakaasa nti gavumenti tekola makubo, ffe katwekwatiremu ng’abatuuze.

HAJI Omar Mayanja; Kuno kwedduukirira fekka, abalina obuvunanyizibwa babusuuliridde, loole zigwa nnyo wano kati awo naffe netusitukiramu. Council yakolako kyesobola naye naffe netutandika kaweefube. Tusaba gavumenti ewe ba Ssentebe b’ebyalo contract okwekolera ku makubo gaabwe.









Comments

Popular posts from this blog

Ngonge (otter) clan

ENTE / COW CLAN

nkima clan / monkey clan