AB’EKIKA KY’ENVUBU BAZIZZAAWO OMUTUBA OGUBADDE GUMAZE EMYAKA 50 NGA TEGULINA MUSIKA.
AB’EKIKA ky’Envubu batuuzizza ow’Omutuba gwa Muwaali okuva mu Ssiga lya Kavubu ogubadde gumaze emyaka 50 nga tewali aguddukanya mu butongole. Baabadde Bugolo mu Disitulikiti y’e Buikwe, Mubazi Buuzaabalyawo 76, bwe yasumikiddwa okutwala obuvunaanyizibwa bw’Omutuba guno okusikira kitaawe Zaakaliya Musoke eyafa mu 1975 n’alekawo omuwaatwa. Okuva omwaka ogwo lwe yafa, wabaddewo okusika omugwa mu b’oluganda okulondako ani anaamuddira mu bigere okutuusa Omutaka Kayita omukulu w’ekika ky’Envubu Yunus Kasimaggwa bwe yabatuuzizza era omusika n’assibwako. Omukolo ogwabadde mu luggya lw’omugenzi, Buuzabalyawo n’asumikibwa ow’Essiga lya Bukuku, Moses Kimera Kasimaggwa eyamukuutidde okukumaakuma n’okulamula banne awatali kubaawulayawula. Yamusabye eby’enfuna bireme okubaawula ng’akikwataganya n’ebibadde biremesezza olumbe luno okwabizibwa nga ab’oluganda bakaayanira ettaka ly’omugenzi. Katikkiro w’ekika Godfrey Luyombya Nswasazluguudo, yasabye ow’Omutuba omuggya okutwala eby’obuwanga ng’enta...