EMIRIMU GY'EMIKONO

 EKITONGOLE  kya Uganda Youth Development Link (UYDEL)kibangudde abtuuze be Nakulabye mu by’emikono.

 Bano  babadde Nakulabye mu zooni v ekisangibwa mu munisipaali ye Lubaga  ku Lwokusatu, nebategeeza nti  bavubuka bangi  mu Nakulabye abatalina mirimu nga  balabye  nga wakyaliwo obwetavu bwokubabangula   mu mirimu gy’omutwe basobole okwebeezaawo.

Abavubuka  abawera  50 bebetabye ku musomo guno  ogwabadde kuteekateekeddwa  okumala olunaku lulamba, nga  batandise  ku saawa emu nebakomekerezza  akawungeezi.

 Bano  bayigiriziddwa   okukola  paadi z’abakyala ezebakozesa  nga booza, okukola Yogaati,ssabuni w’amazzi,  nebilala.

Daisy Namboga  ng’ono  akulira eby’emirimu mu kitongole kino yategeezezza nti ekigendererwa  ky’emisomo gino kwekuyambako  okubangula abavubuka  okusobola okuyiga emirimu egisobola okubabeezawo mu bulamu. Yagambye nti  mu nteekateeka eno  abantu okuli abawala abalenzi, abakyala nebalala batunulidwa  nnyo mu  misomo gino.

Yagambye nti   ekibiina  kino kyakugenda mu maaso nokutambula  nga bwekisomesa abavubuka mu bitundu bya Kamapala ebyenjawulo  nga  bakutambula  mu division za Kamapala ttano.

Ayongerako nti, singa abavubuka bano bamala okuyigirizibwa emirimu bakubabafunira ebikozesebwa  basobole  okwetandikirawo emirimu.

 Patrick Lukenge ssentebe wa mbuubi zooni yategeezezza nti, enkola eno yakuyamba abavubuka mu kitundu kye Nakulabye okufuna emirimu.










 
 

Comments

Popular posts from this blog

Ngonge (otter) clan

ENTE / COW CLAN

nkima clan / monkey clan