AB’EKIKA KY’ENVUBU BAZIZZAAWO OMUTUBA OGUBADDE GUMAZE EMYAKA 50 NGA TEGULINA MUSIKA.
AB’EKIKA ky’Envubu batuuzizza ow’Omutuba gwa Muwaali okuva mu Ssiga lya Kavubu ogubadde gumaze emyaka 50 nga tewali aguddukanya mu butongole.
Baabadde Bugolo mu Disitulikiti y’e Buikwe, Mubazi Buuzaabalyawo 76, bwe yasumikiddwa okutwala obuvunaanyizibwa bw’Omutuba guno okusikira kitaawe Zaakaliya Musoke eyafa mu 1975 n’alekawo omuwaatwa.
Okuva omwaka ogwo lwe yafa, wabaddewo okusika omugwa mu b’oluganda okulondako ani anaamuddira mu bigere okutuusa Omutaka Kayita omukulu w’ekika ky’Envubu Yunus Kasimaggwa bwe yabatuuzizza era omusika n’assibwako.
Omukolo ogwabadde mu luggya lw’omugenzi, Buuzabalyawo n’asumikibwa ow’Essiga lya Bukuku, Moses Kimera Kasimaggwa eyamukuutidde okukumaakuma n’okulamula banne awatali kubaawulayawula.
Yamusabye eby’enfuna bireme okubaawula ng’akikwataganya n’ebibadde biremesezza olumbe luno okwabizibwa nga ab’oluganda bakaayanira ettaka ly’omugenzi.
Katikkiro w’ekika Godfrey Luyombya Nswasazluguudo, yasabye ow’Omutuba omuggya okutwala eby’obuwanga ng’entabiro y’oluganda n’amukubiriza obutabisuula muguluka.
Omutaka Kayita Kasimaggwa, yasabye abazzukulu b’Envubu obutatwala bya Buwangwa nga bya Sitaani ng’awa eky’okulabirako ky’olubugo abamu lwe batwala ng’ekyonziira ate nga kyambalo ky’abedda n’abakubiriza okukuuma ennono.
Ono era yabasabye okwewala abantu abeesomye okubateemaatemu n’abakubiriza okuzzaawo Amasiga, Emitubu, Ennyiriri n’Empya ebisobola okukola ng’ennyingo ezibagatta obuteeyawulamu.
Kasimaggwa yategeezezza nti abazadde bateekeddwa okubeera omumuli n’entandikwa gw’obuwangwa n’ennono nga kino basobola okukikola singa bafuddeyo okusomesa emiti emito. Mu Kino yagambye nti bafisseeyo ku kadde akatambula n’abaana baabwe ku mikolo gy’ennono nabo okuyiga.
Kayita yennyamidde ku bantu abetundako n’ettaka nti lino kye kimu ku ntabiro y’ebyobuwangwa nga singa lisaanawo nabyo bifa ate n’okubulwako we bayita awaka. Yabawadde amagezi nti singa baagala ssente waakiri balipangise okusinga okulyeggyako.
Yabasabye era okujjumbira emirimu gy’ekika okubasobozesa okukitwala mu maaso mu by’enkulaakulana.
Buuzabalyawo ow’Omutuba gwa Muwaali omuggya yeeyamye okutwala obuvunaanyizibwa buno ng’ayita mu kugatta n’okunoonya abazzukulu bonna gye bali okukulaakulanya Omutuba guno.
Waabadde n’okusumikira ow’Olunyiriri lwa Muyunga mu Ssiga lya Kavubu era Malik Muyunga ye yaweereddwa obuvunaanyizibwa buno.





Comments
Post a Comment