EKIKA KY’ENVUBU. (Hippopotamus)




 By Peter Ssuuna

AB’ENVUBU be bakwasa Kasujju Lubinga empiima eyitibwa Naluwangala Ssekiboobo Mutalagga omuweesa omukulu mu kika gy’aweesa mu kutikkira Ssaabasajja ng’alya Namulondo era be baweesi b’ebikomo ebyambalwa Abalangira n’abambejja mu Lubiri.

Obadde okimanyi nti olunaku lw’okulamaga e Namugongo olusomboola abantu kumpi kuva buziizi, lulina ebyafaayo ebikusike by’obadde tomanyi kyokka nga biviira ddala ku kika ky’Envubu ne Jjaja bwe Kayita Nsaabwa Kawala owa 43 eyali ow’ebyewuunyo agalamidde ku butaka ku lusozi Mbazi mu Kyaggwe.

Olwali olwo ng’abazungu beesolossa Uganda n’eddiini yaabwe gye baasanga Kabaka Mwanga ng’alamula. Ekiseera ekyo Kayita Nsabwa ye yali omukongozzi w’emmandwa Kiwanuka (Omusamize) omukulu olw’okuba ab’Envubu be bakola guno.

Nsaabwa yagamba kabaka nti, ‘ffe tulina Katonda waffe gwe tusaba wabula nabo we baba balina owaabwe, Oweekitiibwa tuggalire mu nsiisira emu otukumeko omuliro anaaguvaamu nga mulamu Kabaka yeeyo enzikiriza gy’onaasoma’ kyaleetera abazungu okutya.

Kabaka yayita Nsaabwa, n’amubuuza nti ekyo okikakasa? Ko ye nti ddala! Mwanga yaggalira Nsaabwa mu nsiisira n’endiga ye n’amukumako omuliro ekyamwewuunyisa kwe kuvaamu nga tayidde.

Kino kyawaliriza Mwanga okutandika okunoonya abazungu n’abagoberezi baabwe okubokya era ky’ova olaba buli gwe baakwatanga ng’ayokebwa omwali n’abajulizi abaafuuka ensonga ya buli mwaka nga June 3.

Nsaabwa ono anyumizibwako nga Kayita ow’ebyewuunyo abazukkulu mu kika abava e Bule ne Bweya abajja ne bakuba amavi ku ntaana ye ne bamusaba. Kigambibwa nti bwe yafa, yagaana okumuteekako amajolobera, era emmotoka ezaali zisomba amatoffaali g’okuzimbira entaana, zaalemererwa ku lunaku lw’okumutereka kyokka enkeera baasanga entaana ye yeezimbyeko ekiswa ekinene.

Balina omusambwa Nnaabatamiivu oguli mu muti nga bw’ogutuukawo owulira omwenge oguwunya ate nga teguliiwo era abaagala okunywa n’okuva ku mwenge we bafukamira ne basaba ensonga zaabwe ne ziddibwamu.

EBITONOTONO KU NVUBU

Envubu gwe gumu ku miziro gya Buganda egisinga obunene n’obuzito ng’ennume egeraageranyizibwa okubeera mu kkilo 1,546 ate enkazi 1,385, obuwanvu oba obwagaagavu bwayo, ennume ziri wakati wa 300-505 cm ate enkazi 290-430 cm ekitegeeza nti kisola kinene bulungi.

Envubu zibeera mu nsaalu, ennyanja, emigga n’ebifo ebisangibwamu amazzi mwe zitera okwebbika newankubadde era ziwangaalira ne kulukalu.

Zibeera mu bibinja wakati w’envubu ttaano ku 30. Okuweeka kwazo n’okuzaala byonna bikolebwa mu mazzi.

Mu budde bw’emisana, envubu zibeera mu mazzi oba ettosi mwe zeekukuma kyokka bwe buziba olwo ne zijja ku lukalu okulya omuddo. Bwe zibeera mu bibinja, mu budde bw’okuwummula buli emu ewummulira kuginnaayo okulaga obumu.

Envubu, ze zimu ku bisolo ebisanga okubeera ebikambwe olw’enkula yaazo ey’ekiwago ate nga tosobola kusuubira kye zizzaako. Zirina amannyo amasongovu agasobola okwabuluza mu kye zikutte.

Zino tezirina kye zitya era abalunnyanja bazitya nnyo naddala abalina obwato bu ppala olw’okuba nti zisobola okukoona obwato buno ne bagwa mu nnyanja.

Eddiba lyayo bw’olisalako ekitundu n’okizinga n’okyanika livaamu kibooko ennungi gy’okuba munno n’agiwuliramu omusera.

Envubu ensajja zisajjalaata okufaanana n’abasajja mu bantu. Bwe kibeera ekiseera ky’okuweeka kituuse, zisobola okuweeka enkazi ezisoba mu emu era enkazi bw’efuna eggwako ezaalira mu bbanga lya nnaku 324. Ziwangaala wakati w’emyaka 40 ku 50.

Akabbiro k’envubu njovu.

Ebyafaayo byogera nti mu kusooka enfudu ke kaali akabbiro k’abeddira Envubu kyokka oluvannyuma yalivvulwa nga kyava ku bukolomooni enfudu bwe yakolera ku mazzi e Busaabala nga Kayita ali e Busaabala awo nga tannawunguka kugenda Mbazi mu Kyaggwe n’abantu be.

Okunoonyereza okulala ku kyavaako Enjovu okuba akabbiro k’abeddira Envubu, byogerwa nti zaali mpaka za nsolo ekira ginnaayo obunene ku bbiri.

Nti wakati mu mpaka, kyasalwawo ab’envubu baleete Enjovu n’abenjovu baleete envubu baawuleko esinga obunene. Ab’enjovu baatega envubu ku mazzi ne bagikwasa nga nnamu. Ab’envubu enjovu baagifumita amafumu ne bagitta ekitaasanyusa ba Njovu olutalo ne lutandikira awo.

OKWAVA OMUTAKA W’ENVUBU OKUYITIBWA KAYITA

Ebyafaayo byogera nti, Kayita omuberyeberye yali musajja mutono gw’oyinza okuyita akasajja. Ku lutalo lwa Kintu ne Bbemba, ennumba za Kintu yazitegekanga yeeyambisa abazzukulu b’ebika eby’enjawulo. Mu bino mwe mwalimu n’ekyabeddira envubu.

Bbemba bwe yasimba amakanda e Ssese Kintu yakimanya n’alayira okumulumbayo bubeefuke. kiki ekyavaako olutalo luno? Kigambibwa nti Kintu bwe yali aduumira okukeera yabasuubiza nti anaakeera y’anaakwata ekyogero ky’Abalangira n’Abambejja. Nga kya kitiibwa nnyo omutabaazi okukwata ekyogero kino.   

Obudde bwagenda okya Kayita yatakawadde dda embuga. Kintu yeewuunya engeri Kayita gye yakeeramu n’atuuka okulowooza nti teyakeera, yatambula kiro. Kuno kwe yava okumubatiza   erya “Kayitakiro Mutatyabudde eryavaamu Kayita.

EBIFO BY’OBUWANGWA KU BUTAKA EMBAZI MU KYAGGWE

Mbazi ky’ekyalo ky’obutaka obukulu obw’abeddira Envubu. Kisangibwa mu ggombolola y’e Kkojja mu ssaza Kyaggwe mu Ditulikiti y’e Mukono. Kyalo ekikwatiridde ensozi nazo ezikwatiridde amayinja nga n’agamu manene ddala. Amayinja gano tegasaatuukirwako.

Abavubu ku Mbazi bagawa ekitiibwa ng’ebisulo by’empewo zaabwe ng’omusambwa Kiwanuka n’endala. 

OMUBALA: mu nnyanja weddiramu ki? Nvubu”

Obudde bunzibiridde. Sula. Ekikazi kindibiridde. Goba. Gabalama gabalama e nanso. 

AB’ENVUBU BAAVAAKO BULANGE OKUYITIBWA MMENGO

Olusozi Mmengo-Bulange okutudde woofiisi z’oBwakabaka bwa Buganda edda lwayitibwanga Kagerekamu-Nkaawo. Amannya gano gaadibizibwa luvannyuma lw’abeddira Envubu kusenga lusozi luno ate ne baluvaako.

Kayita yasimbula ne bazzukulu be okuva ku kyalo Ntonnyeze e Busujju. Yaggukira ku mutala Kagerekamu-Nkaawo kati Mmengo-Bulange. Kwaliko akabira era kano mwe baatuusiza emmengo zaabwe.

Emmengo ge mayinja okuseerwa oba okumerengulirwa emmere y’empeke nga obulo oba omuwemba. Olumu luyitibwa lubengo. Obumu ku buvunaanyizibwa bw’abeddira envubu eri Kabaka kwe kuba nga be bamu ku basawo mu lubiri kale ku mmengo zaabwe kwe kwaseerwanga eddagala lye bajjanjabisanga abalwadde mu lubiri.

Kigambibwa nti emmengo z’abeddira Envubu zino zaali za nsinza yaabwe ey’ennono. Nti era zaali za lubaale waabwe Kiwanuka gwe basamirira. Ku lusozi Nkaawo Ab’envubu baamalako ekiseera ekiwera era baaluvaako jjo ly’abalamu ku Mwanga II ng’asiimye alamulireko n’akubako olubiri.  

Ku lusozi Mmengo, Kayita yazaalirako abaana bana, Kaseeseeba, Nkukunala Kibengo, ne Nkambo

LWAKI BEDDIRA NVUBU.

Bwe yali asenguka ku Mmengo,Kayita yalekako mutabani we Nkukunala Kibengo n’agenda ku mwalo e Busaabala nawo n’akubawo amakanda. Ku Busaabala, mutabani we Kaseeseba ate gye yamubulirako mu ngeri eyamumalako ebyewungula.

Yatuma baana be okumukimira ku mazzi okuva ku nnyanja Busaabala. Baagenda okudda nga Kaseeseeba taliiko ekigambibwa nti yaliibwa Nvubu. Kino kyavaamu Kayita okulangirira abaana n’abazzukulu obutageza kugirya.

Busaabala yadibirira Kyita n’atuuka n’okutuuma ekimu ku bitundu bye Busaabala Kivubu ng’ajjukira ekivubu ekyamukolako ekikolobero ky’okumuliira omwana.

Ye mutabani we Nkambo yasigala ku Busaabala era kuno kwe kuli essiga lye erya Nkambo Kasiko

Ne mutabani we Nkukunala Kibengo Kayita gweyali alese e Mmengo naye yaguvaako n’agenda e Ssese. Essese gye yaweerwa erinnya lya Sserumaga.

OBUVUNAANYIZIBWA BW’ABENVUBU EMBUGA

v  Mutalaga y’aweesa empiima ya Kabaka Naluwangula Kasujju gy’akwasa Kabaka nga alya Obuganda e Naggalabi. Amakulu nti awangule abalabe be bonna n’okusalanga amazima.

v  Ab’envubu bamu ku basawo b’embuga.

v  Ttengetenge Ow’e Lubiri Kyaggwe e Ssi y’aluka engabo y’Obwakabaka bwa Buganda eyitibwa (BwaKIRO)

v  Be bakuuma omulongo wa Kintu ayitibwa Lukenge.

v  Lumbuye y’aluka engabo y’Obwakabaka Bwendero.

v  Be bakuba eng’oma Entamiivu.

v  Be baddirira Kikwata ow’e Nkejje okuduumira empingu ya Kabaka mu Kyaggwe.

AMASIGA AGAKOLA EKIKA KY'ENVUBU

1.Kavubu e Bugolo mu Kyaggwe.

2.Kanaaba e Butembe mu Kyaggwe.

3.Kikondo Bugolo Kyaggwe.

4.Nkambo Busaabala mu Kyaddondo

5.Ndobera e Buuje Kkoome Kyaggwe.

6.Kibowa e Ddamba Kyaggwe.

7.Mawagajjo e Buwagajjo Kyaggwe.

8.Sserumaga e Bwendero Ssese.

9.Kasimaggwa/Bukuku/Kayita e Mbazi Kyaggwe.

10.Kisongole e Mbazi Kyaggwe.

11.Namagunde e Mbazi Kyaggwe.

12.Ggambira Masujju Kyaggwe: Ono e Masujju obutaka bwe bwavaako kati ali Najjembe mu Kyaggwe.

13.Mbuge e Mbazi Kyaggwe.

14.Sserufuusa e Buligo Ssese.

15.Mutwe e Bugolo Kyaggwe.

16.Ggita e Matanga mu Busiro.

17.Ndobera e Kkoome.

18.Nampuluguma e Buwuluguma Mukono mu Kyaggwe.

EBIFO EBY’OBUWANGWA MU KIKA KY’ENVUBU E MBAZI 

Ejjinja SsangoLino liri kumpi n’ennyanja Mbazi Kayita omuberyeberye kwe yagobera. Lyetooloozeddwa emiramula (empaanyi).

Kinnyamira: Kino ky’ekifo awagalamidde abataka Bakayita abazze bakulembera ekika kino.

Butuukiro: Wano we waaziikibwa Nsaabwe Kayita owa 43 ne mutabani.

Ejjinja Ssebuwanguzi:  Kuno Kayita omuggya kw’ayimirizibwa n’akwasibwa effumu Kalokolabuganda olw’okuba be basamirira empewo ya Kiwanuka.

AGAMU KU MANNYA AGATUUMWA AB’ENVUBU

Abalenzi; Sserubiri, Mukooza, Kiwunda, Kasimaggwa, Mugumbwa, Kiyimba, Ssemuzinyi, Kasaato, Kisongole, Gita n’amala. 

Abawala; Nnakibengo, Nnakavubu, Nnankambo, Nnakiyini, Nnassango n’amalala.

AMANNYA G’ENVUBU AGALINA AKAKWATE KU MUZIRO GWENNYINI

Ssempijja: Oluyijja ly’ejjinja olweyambisibwa abaweesi.

Nameere: Amazzi ameere-Envubu esula mu mazzi.

Kiweesi: Abeddira envubu baweesi ba Kabaka mu lubiri.

Ssemyalo: Omwalo.

Muwenda: Ekiwenda ly’ekkubo envubu mw’eyita.

Ssejjengo: Ejjengo ly’amazzi.

Kavubu: Akavubu akatono.

Ssemuyaga: Omuyaga oba empewo ku mazzi

Nakirya: Enjovu erya nnyo.

Ssemmengo: Emmengo kwe baseerera empeke nga obulo, omuwemba

Kasoma: Akasongezo amazzi ku kizinga.

Kiyemba: Kika kya nkejje.

ENGERO, EBISOKO N’ENJOGERA EBIGENDERA KU NVUBU.

1.Kigere kya nvubu bakyegezaamu egenze.

2.Omuntu naddala omukazi envubu gwe yakuba oluyi emabega.

3. Essowane Kigerekyanvubu.

4.Enzita y’envubu.

 

 

 

 

Comments

Popular posts from this blog

ENTE / COW CLAN

Lion/ Mpologoma clan

Ngonge (otter) clan