KKOOTI YA KISEKWA ESAZIZZAAMU OBWA KATIKKIRO BW’ENSENENE OBUBADDE BUMAZE EMYAKA EGISUKKA MU 120 MU BW’ENSOWOLE.

Bazzukulu ba Ipolito nga bajaguza

Kkooti ya Kisekwa e Mengo esazizzaamu obwa “Kajubi” katikkiro w’ekika ky’Ensenene obubadde bumaze emyaka egisukka mu 120 mu bw’ensowole n’eragira balonde omuggya nga balambikibwa ennono ya Buganda era ayanjulwe obutasukka nnaku 30.

Bino byasaliddwawo olukiiko lw’abalumuzi ku kkooti eno abaakulembeddwa kisekwa, Dr. Robert Ssonko Kanakuloopa, Lubega Ssebende n’abalala oluvunnyuma lw’omusango KD/01/2023 okutuuka ku nkomerero yaagwo.

Bazzukulu ba Ipolito Lule Gyolyabalamu ab'e Nsenene abawangudde omusango, baawawaabira bazzukulu ba Marko Kironde okulya ensowole ku bwa Katikkiro bw'ekika era bazze bazuzumba okuva 1920.

ku kkono ye Ian Kabali Katikkiro gwe baggyeko ne Dr. Frank Ssebbowa mu ntuula za kkooti eziyise

Bano nga bakulembeddwamu Charles Sserebe ne Mulindwa Magatto beemulugunya nti Ian Kabali Katikkiro aliko kati si y’ateekeddwa kubanga tava mu lunyiriri lwa Ipolito oluvaamu Kajubi.

 

Bisoba bitya?

Okusinziira ku Sserebe omuwaabi agamba nti, byatandikira ku Sir Apollo Kaggwa okulondebwa ku bwa Katikkiro wa Buganda mu gy'e 1800.

 

Nti ono olwamala okufuuka Katikkiro, ate mu 1904 yakola enkyukakyuka n'agoba Omutaka Kalibbala ne Kajubi we ku bukulu bw'ekika ky'e NSenene, Kalibbala eyaliko Semei Mukasa Kagole Nkondo n'amusikiza Mugalula ne Kajubi (Katikkiro) Ipolito Lule Gyolyabalamu n'amusikiza Marko Kironde bano ne batandika okusikirwa mu bukyamu.

 

Ensonga zituuka mu lukiiko lwa buganda.


Kalibbala ne Katikkiro baatwala omusango guno mu lukiiko lwa Buganda kati eyitibwa Kkooti ya Kisekwa nga beemulungunya ku kuggyibwako mu bukyamu n'okusikizibwa ensowole era olukiiko olwakulemberwa Omulamuzi Stanislas Mugwanya lwasala nti bano baddizibweko amangu ddala era ne kikakasibwa ne Kabaka Daudi Chwa II mu 1920 nti baali batuufu wabula ne kitateekebwa mu nkola.


Nga wayise emyaka 87 mu 1993, ab'Ensenene nga bakulembeddwamu Charles Sserebe, George Mpagi ne Babirye Katasi battukiza omusango mu 1998 ne guddamu okusalibwa nga bawanguzi.


Mu 2002 ku musango KD/01/2002 kkooti yaddamu okugusala n'eragira Mugalula okudda ebbali ne Marko Kironde wabula ku luno obwa Kalibbala bwaddawo naye obwa Kajubi ne bugaana.

 

Nga October 14, 2005, Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yawandiika ebbaluwa ekakasa Kalibbala ku bw'obukulu bw'e Kika era n'alagira Mugalula okubeera omuwulize eri Omutaka Kalibbala.


Kabaka era yalagira Omutaka Kalibbala okutereeza ekika wabula Sserebe agamba nti Kalibbala yakola ensobi ate n'alonda omu ku bazzukulu ba Marko Kironde n'afuulibwa Kajubi kyokka nga kkooti yali yasala dda nti oludda luno lwali lwalya Nsowole ne lugwobwa.

 

Kkooti esaze eggoye

Kkooti bw’ebadde erungamya, yategeezezza nti essiga lya Kajubi kkulu nnyo mu kika ne Buganda, nga bwe litatereezebwa ekika kyonna tekitereera.

Yagambye nti mu kiseera kino, omutaka Kalibbala tannaba kwetengerera okusobola okukulembera n'okulamula ekika, kubanga akyali muto.

Omukuza omukulu owa Kalibbala, ye Katikkiro w'Ekika Owessiga Kajubi. Kyokka entebe y'Essiga lino, ekyakaayanirwa. Olw'obukulu bw'ensonga eno, Embuga eno esazeewo etereeze entebe ya Kajubi. Mu kukola kino, Embuga egenda kwesigama ku nsala ya Ssekabaka Daudi Chwa ll eya 1920, n'eya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Il eya 2005.

Kkooti ewadde ebbanga lya nnaku 30 abavunaanyizibwa ku ssiga lino okwanjuliramu ow’Essiga Kajubi eri embuga.

Bazzukulu ba Ipolito abaawangudde omusango mu kifaananyi

Enteekateeka zonna ez’okunoonya n’okuzuula Kajubi omutuufu ziteekeddwa okugoberera ennono y’ensikirano nga bw’emanyiddwa mu Buganda.

Okukakasiza ddala nti, Abataka Ab’emituba egiri mu ssiga lya Kajubi beenyigira mu nteekateeka y’ensonga eno.

Abataka ab’ennono mu ssiga lino abavunaanyizibwa ku nsonga zino, tebateekeddwa kulekebwa mabega, okugeza omutaka asumika Ow’essiga Kajubi.

Kironde Katimpa Kajubi Kiwuka y’alindiriddwa okulya obwa Kajubi kuba y’agambibwa okuva mu lunyiriri lwa Ipolito oluvaamu ba Katikkiro.

Nga bakulembeddwa Dr. Frank Ssebbowa bazzukulu ba Mako Kironde abaamegeddwa, bagamba baakujulira essaawa yonna.


Comments

Popular posts from this blog

ENTE / COW CLAN

Lion/ Mpologoma clan

Ngonge (otter) clan