The Traditional And Complementary Medicene Bill 2015’’
Abasawo b'ekinnaansi abegatira mu kibiina kya Uganda N’eddagala lyayo balaze ekiwandiiko kyabwe Kyebaabaze okusaba pulezidenti Museveni obutasssa mukono ku bbago lya ‘The Traditional And Complementary Medicene Bill 2015’’ ne ‘petition’ gyebategese okutwala mu paliyamenti okuddamu okwekenenya bo lyebagamba nti tebakiriziganya nalyo era lyagendereramu kutatana linnya lyabwe bo nga abasawo b’ekinansi. Karim Walyabira Ssalongo ssaabasamize akulira ekibiina kya a’basawo b’ekinansi ki Uganda N’eddagala Lyayo yategeezeza nti eteeka lino lyagendereramu kubasaako musolo naye bo nga abasawo bekinansi teririna welibayambira nga n’abaliyisa tekwaliko alina bumanyirivu kunsonsa za kinansi era wano weyagambidde abo abakiriziganya nalyo baffere sibasawo bakinansi. Walyabira yategeezeza nti betaaga minisitule eyetengeredde ey’ebyobuwangwa bagibwe muminisitule yekikula ky’abantu nga bwekiri munsi endala. Walyabira yayebaziza paliyamenti olwokuyisa eteeka eri abo abasadaaka aban...