EMIRIMU GY'EMIKONO
EKITONGOLE kya Uganda Youth Development Link (UYDEL)kibangudde abtuuze be Nakulabye mu by’emikono. Bano babadde Nakulabye mu zooni v ekisangibwa mu munisipaali ye Lubaga ku Lwokusatu, nebategeeza nti bavubuka bangi mu Nakulabye abatalina mirimu nga balabye nga wakyaliwo obwetavu bwokubabangula mu mirimu gy’omutwe basobole okwebeezaawo. Abavubuka abawera 50 bebetabye ku musomo guno ogwabadde kuteekateekeddwa okumala olunaku lulamba, nga batandise ku saawa emu nebakomekerezza akawungeezi. Bano bayigiriziddwa okukola paadi z’abakyala ezebakozesa nga booza, okukola Yogaati,ssabuni w’amazzi, nebilala. Daisy Namboga ng’ono akulira eby’emirimu mu kitongole kino yategeezezza nti ekigendererwa ky’emisomo gino kwekuyambako okubangula abavubuka okusobola okuyiga emirimu egisobola okubabeezawo mu bulamu. Yagambye nti...