Bulungi bwansi e lubaga

Bya: PETER SSUUNA ABATUUZE ba Mbuubi Zooni Lungujja Parish mu Division yāe Lubaga baakeeredde mu Bulungi Bwansi ku lwokusatu nga bano baakulembeddwamu Patrick Lukenge Ssentebe wāe kitundu kino. Bano baagoogodde omwala gwa Kamaanya Road ssaako nāokuzibikira ebinnya mu luguudo luno olwabadde mu mumbeera embi. Patrick Lukenge Ssentebe wa Mbuubi Zooni ategeezezza nti enkola eno yatongozebwa Shinji Katongole emyaka 2 egiyise era nga enteekateeka eno ekolebwa buli Lwakusatu era nga obwa Kabaka bwebukuutira. Patrick agamba nti bayambibwako John Hanwick eyabagulira ebikozesebwa mu mulimo guno omuli enkumbi, ebitiiyo,obuwuuba n'ebirala era nga ono wa byakwerinda ku lukiiko lwāekyalo. Mu ngeri yemu Patrick agamba nti enkola ya Bulungi Bwansi eyambye nnyo okugoogola emyala, okusimba emiti ku makubo, okukubiriza abatuuze okukuuma obuyonjo mu maka, wamu nāokulaga abavubuka omutima gwa mwoyo gwa Ggwanga. āGavumenti bweba eruddewo okuddaabiriza amakubo, ffe katwekolemu omulimu ngā abatuuze tulon...